Jeremiah 21:4-7

4 a‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. 5 bNze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 6 cEra ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. 7 dOluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

Copyright information for LugEEEE